Uuh eh yeah eh

Uuh

Omuntu mulungi ku balala naye nze agaanye!

Yefuula alumirirwa

Ne bw'aba wuwo bw'ofuna yafuuka enkonge!

Ng'ate alemesa ebibyo

Omuntu mulungi ku balala naye nze agaanye!

Yefuula alumirirwa

Ne bw'aba wuwo bw'ofuna yafuuka enkonge!

Ng'ate alemesa ebibyo

Namuwa binene naye n'akatono akatabukidde

Amakubo g'enfuna yange kati agazibikidde, oh oh

Ono gwe mbagamba

Yasala mutima n'agutunda

Nasigaza mutwe bye nafumba

Yagaayiza ku kyoto nze saalya!

Omuntu muzibu!

N'akatono k'ofisizza mu buzibu

Kajula musuula ddalu, sirimba

Ayagala na kutta tasaaga!

Ssebo ye takoowa

Ayagala bikolere ye n'alya!

Kati buli luvannyuma lwa ddakiika omwami awera

Yе bameka abatuvudde maaso loga

Bwe kiriba kituusе ekiseera nja kuguma

Ŋŋende oba ensi yammwe

Omuntu mulungi ku balala naye nze agaanye!

Yefuula alumirirwa

Ne bw'aba wuwo bw'ofuna yafuuka enkonge!

Ng'ate alemesa ebibyo

Omuntu mulungi ku balala naye nze agaanye!

Yefuula alumirirwa

Ne bw'aba wuwo bw'ofuna yafuuka enkonge!

Ng'ate alemesa ebibyo

Buli kye wagambanga nayamba, saagaana

Nze bwe nakaabanga wagenda

Bwe waba okulya awo n'odda

Nakusuutanga aah

Nga gwe bw'onkongoola ah nedda

Nayagala ofune naye nga

Gwe njagaliza ye ate maggwa ganteekateekedde natuula!

Ganfumita nasiima

Bannange omuntu kiki hapana

Ekimubagula n'ataama?

Tewakyali muto kakabe akaana

Bwe kagalula ggyayo enkoona aah!

Omuntu kiki hapana

Ekimubagula n'ataama?

Tewakyali muto kakabe akaana

Bwe kagalula ggyayo enkoona

Olaba bagoba minya mu ssanja

Gyebatafumba nva!

Omuntu mulungi ku balala naye nze agaanye!

Yefuula alumirirwa

Ne bw'aba wuwo bw'ofuna yafuuka enkonge!

Ng'ate alemesa ebibyo

Omuntu mulungi ku balala naye nze agaanye!

Yefuula alumirirwa

Ne bw'aba wuwo bw'ofuna yafuuka enkonge!

Ng'ate alemesa ebibyo

Double Kick

Yaled

Mbuuza nakukola ki kyogere mpulire kasimba nkalu?

Okwagala ondese obwana bwange bukule nga buli mu nnaku!

Nakola buli kisoboka obulamu bwo bubeere nga buli mu ssanyu

Owera mbu olisala n'ensalo

Ofune ekka nga lingyera mu nsawo

Onsonsese ejjinja mu bulago

Gwe n'obutemu kirabika mwatta mukago

Kiki ekitutabangula bazzukulu ba Kaawa?

Okulaba afunye ekirungi wenna n'otabuka!

Emitima gy'adda mu nsawo tegikyatuli mu bifuba?

Abantu babojja bubozzi bafaanana emisota!

Oba ng'onkyaya

Oyagala nfe nga mpaala

Nze eyakwambusa eddaala

Onjiwa mu kifuba olunyata, oooh!